Isaiah 64:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sso ate, ayi Mukama, ggwe Kitaffe; ffe tuli bbumba, ggwe mubumbi waffe; ffenna tuli mulimu gwa mikono gyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tewali n’omu akoowoola linnya lyo oba eyewaliriza okukukwatako, kubanga watwekweka tetukyalaba maaso go, era n’otuwaayo ne tuzikirira olw’ebibi byaffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
So tewali asaba linnya lyo, eyeekakaabiriza okukukwatako: kubanga otukisizza amaaso go n'otumalawo olw'obutali butuukirivu bwaffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tewali ajja gy'oli okukwegayirira, tewali yeeyuna gy'oli omuyambe. Otwekwese, era otumazeewo olw'ebibi byaffe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So tewali asaba linnya lyo, eyeekakaabiriza okukukwatako: kubanga otukisizza amaaso go n'otumalawo olw'obutali butuukirivu bwaffe.