Isaiah 64:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Mukama, tosunguwala kiyitiridde; leka kujjukira bibi byaffe mirembe gyonna. Tukwegayiridde tunuulira, ffenna tuli bantu bo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate ng’era, Ayi Mukama Katonda, ggwe Kitaffe. Ffe tuli bbumba, ggwe mubumbi, ffe ffenna tuli mulimu gwa mikono gyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye kaakano, ayi Mukama, ggwe Kitaffe; ffe tuli bbumba, naawe mubumbi waffe; naffe fenna tuli mulimu gwa mukono gwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ayi Mukama, Ggwe Kitaffe. Ffe tuli bbumba, Ggwe mubumbi waffe, era ffe ffenna Ggwe watutonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye kaakano, ai Mukama, ggwe kitaffe; ffe tuli bbumba, naawe mubumbi waffe; naffe fenna tuli mulimu gwa mukono gwo.