Isaiah 64:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebibuga byo ebitukuvu bifuuse ddungu; Siyoni kifuuse matongo, Yeruzaalemu kyabuliddwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tosunguwala kisukkiridde nnyo, Ayi Mukama Katonda, tojjukira bibi byaffe mirembe gyonna. Weewaawo, tutunuulire, tusaba, kubanga tuli bantu bo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tosunguwala nnyo nnyini, ayi Mukama, so tojjukira butali butuukirivu ennaku zonna, laba, tunula, tukwegayiridde, ffe fenna tuli bantu bo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale totusunguwalira kiyitiridde, ayi Mukama, wadde okutuvunaana ebibi byaffe ennaku zonna. Ffenna nga bw'otulaba, tuli bantu bo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tosunguwala nnyo nnyini, ai Mukama, so tojjukira butali butuukirivu ennaku zonna: laba, tunula, tukwegayiridde, ffe fenna tuli bantu bo.