Isaiah 65:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Saroni kirifuuka ddundiro lya magana, ate Ekiwonvu Akori kye kiriba obuwummuliro bw'ente, ez'abantu bange abannoonya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Saloni kiribeera ddundiro lya bisibo, era n’ekiwonvu kya Akoli kifo kya nte we zigalamira olw’abantu bange abannoonya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Saloni kiriba kisibo kya ndiga, n'ekiwonvu kya Akoli kiriba kifo ente we zigalamira, olw'abantu bange abannoonyezza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olw'abantu bange abansinza, Olusenyi lw'e Saroni lulifuuka ddundiro lya ndiga, n'Ekiwonvu kya Akori kirifuuka kifo, ente mwe zigalamira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Saloni kiriba kisibo kya ndiga, n'ekiwonvu kya Akoli kiriba kifo ente we zigalamira, olw'abantu bange abannoonyezza.