Isaiah 65:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
mbategekedde ekitala, era mwenna mulikutamira okusanjaga, kubanga bwe nakoowoola, temwayanukula; bwe nayogera, temwawuliriza, wabula mwakola bibi mu maaso gange, ne mulondawo ebitansanyusa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ndibawaayo eri ekitala era mwenna mukutaamirire musalibwe, kubanga nabayita naye temwayitaba, nayogera naye temwampuliriza. Mwakola ebitasaana era ne musalawo okukola ebitansanyusa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nze ndibateekerawo ekitala, nammwe mwenna mulikutama okuttibwa: kubanga bwe nnayita temwayitaba; bwe nnayogera temwawulira; naye ne mukola ekyali ekibi mu maaso gange ne mulonda ekyo kye ssaasanyukira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ndibateekerawo ekitala mwenna mukutame okuttibwa, kubanga bwe nabayita, temwayitaba; bwe nayogera, temwafaayo kuwulira; naye mwakola bye nabagaana, mwalondawo ebitansanyusa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nze ndibateekerawo ekitala, nammwe mwenna mulikutama okuttibwa: kubanga bwe nnayita temwayitaba; bwe nnayogera temwawulira; naye ne mukola ekyali ekibi mu maaso gange ne mulonda ekyo kye ssaasanyukira.