Isaiah 65:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'olw'ekyo Omukama kino ky'agamba: “Mulabe, abaweereza bange bagenda kulya, naye mmwe muligenda njala; abaweereza bange balinywa, naye mmwe mulisigala muli bayonta; abaweereza bange bagenda kusanyuka, naye mmwe mugenda kuswazibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo kino Mukama Ayinzabyonna ky’agamba: “Abaweereza bange bajja kulya, naye mmwe mujja kulumwa enjala, abaweereza bange bajja kunywa, naye mmwe mulumwe ennyonta; abaweereza bange bajja kujaguza, naye mmwe mukwatibwe ensonyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyava ayogera bw'ati Mukama Katonda nti, “Laba, abaddu bange balirya, naye mmwe mulirumwa njala; laba, abaddu bange balinywa, naye mmwe mulirumwa nnyonta; laba, abaddu bange balisanyuka, naye mmwe muliswala;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale Nze Mukama Afugabyonna kyenva ŋŋamba nti abo abansinza balirya, era balinywa, naye mmwe mulirumwa enjala n'ennyonta. Bo balisanyuka, naye mmwe muliswazibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyava ayogera bw'ati Mukama Katonda nti Laba, abaddu bange balirya, naye mmwe mulirumwa njala: laba, abaddu bange balinywa, naye mmwe mulirumwa nnyonta: laba, abaddu bange balisanyuka, naye mmwe muliswala: