Isaiah 65:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Erinnya lyange mujja kulirekera abalondemu bange balyeyambise okuvumirira nti: ‘Omukama Katonda akukube akutte,’ naye abaweereza be alibayita erinnya eddala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekikolimo kiryoke kibagwire, Nze Mukama Katonda ow’Eggye mbatte amannya gammwe geerabirwe, naye mpe amannya amaggya abo abaŋŋondera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era mulirekera abalonde bange erinnya lyammwe okuba ekikolimo, era Mukama Katonda alikutta; n'atuuma abaddu be erinnya eddala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abalondemu bange banaakozesanga erinnya lyammwe nga bakolima. Nze Mukama Afugabyonna ndibatta mmwe, naye ne ntuuma erinnya eriggya abo abakola bye njagala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era mulirekera abalonde bange erinnya lyammwe okuba ekikolimo, era Mukama Katonda alikutta; n'atuuma abaddu be erinnya eddala: