Isaiah 65:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli alyesabira emikisa ku nsi, alyesabira mu Katonda ow'amazima; na buli yenna alayira mu nsi, alirayiranga Katonda ow'amazima; kubanga obunaku obwasooka bulyerabirwa, bulinkwekebwa amaaso gange.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kiryoke kibeere nti buli muntu ananoonya okufuna omukisa anaagunoonya kuva eri Katonda Ow’amazima buli anaalayiranga mu ggwanga anaalayiranga Katonda ow’amazima. Kubanga emitawaana egyayita gya kwerabirwa gikwekebwe okuva mu maaso gange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
eyeesabira omukisa mu nsi kyanaavanga yeesabira omukisa eri Katonda ow'amazima; n'oyo alayira mu nsi anaalayiranga Katonda ow'amazima; kubanga obuyinike obwasooka bwerabiddwa, era kubanga bukwekeddwa amaaso gange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'olwekyo, eyeesabira omukisa mu nsi anaagusabanga Nze, Katonda ow'amazima. N'oyo alayira, anaalayiranga Nze, Katonda ow'amazima, kubanga emitawaana egy'edda giriggwaawo, giryerabirwa, nga sikyagifaako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)