Isaiah 65:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Laba, kati ntondawo eggulu eriggya n'ensi empya; ebyakulembera tebikyaddayo kujjukirwa, yadde okuddamu okulowoozebwako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Laba nditonda eggulu eriggya n’ensi empya. Ebintu eby’edda tebijja kujjukirwa wadde okulowoozebwako mu mutima.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga, laba, ntonda eggulu eriggya n'ensi empya; so ebintu ebyasooka tebirijjukirwa so tebiriyingira mu mwoyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Nzuuno ntonda eggulu eriggya n'ensi empya. Ebintu eby'edda tebirijjukirwa, wadde okulowoozebwako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga, laba, ntonda eggulu eriggya n'ensi empya: so ebintu ebyasooka tebirijjukirwa so tebiriyingira mu mwoyo.