Isaiah 65:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka sanyuka bulijjo ojagulize mu ebyo bye ntonda, kubanga nditonda Yeruzaalemu abeere Ssanyu, n'abantu baakyo Kujaguza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye musanyukire ekyo kye ntonda mujaguze emirembe n’emirembe, kubanga nditonda Yerusaalemi okuba essanyu n’abantu baamu okuba okujaguza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye musanyuke mujagulize ennaku zonna ekyo kye ntonda; kubanga, laba, ntonda Yerusaalemi okuba okusanyuka, n'abantu baamu okuba essanyu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye musanyukire era mujaguze ennaku zonna mu ekyo kye ntonda; kubanga Yerusaalemu kye ntonda, kiriba kya kusanyukiramu, era abantu baamu, balijjula essanyu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye musanyuke mujagulize ennaku zonna ekyo kye ntonda: kubanga, laba, ntonda Yerusaalemi okuba okusanyuka, n'abantu baamu okuba essanyu.