Isaiah 65:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nnaasanyukiranga mu Yeruzaalemu ne njaguliza mu bantu bange; eddoboozi ly'ebiwoobe terikyaddayo kuwulirwamu, yadde eddoboozi ly'okukaaba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndijaguza olwa Yerusaalemi era nsanyukire abantu bange; amaloboozi ag’okukaaba tegaliddayo kuwulirwamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndisanyukira Yerusaalemi ne njaguliza abantu bange; so n'eddoboozi ery'okukaaba nga terikyawulirwa omwo nate newakubadde eddoboozi ery'okulira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndisanyukira Yerusaalemu, ne njaguza olw'abantu bange. Tewaliba kukaaba maziga, wadde okutema emiranga olw'ennaku.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndisanyukira Yerusaalemi ne njaguliza abantu bange: so n'eddoboozi ery'okukaaba nga terikyawulirwa omwo nate newakubadde eddoboozi ery'okulira.