Isaiah 65:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu kyo temulisangibwamu kaana kamala nnaku bunaku, yadde omukadde atawangadde kumalako kiseera kye, kubanga oyo aliba mwana anaafiiranga mu myaka ekikumi; oyo ataawezenga kikumi aliyitibwanga muvumirire.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Teriddayo kuba mu kyo mwana muwere anaaberawo ennaku obunaku, oba omusajja omukulu ataamalengayo myaka gye; oyo alifiira ku myaka ekikumi alitwalibwa ng’omuvubuka obuvubuka. Oyo atalituusa kikumi abalibwe ng’eyakolimirwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Temukyavangamu mwana wa nnaku bunaku, newakubadde omukadde atannatuusa nnaku ze; kubanga omwana alifa nga awezeza emyaka kikumi (100), n'alina ebibi nga awezeza emyaka kikumi (100) alikolimirwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaana baliba tebakyafa nga bato. Abantu bonna banaawangaalanga emyaka gyabwe emijjuvu. Abawangadde emyaka ekikumi banaayitibwanga baana bato. Okufa nga togiwezezza kanaabanga kabonero ka kukolimirwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Temukyavangamu mwana wa nnaku bunaku, newakubadde omukadde atannatuusa nnaku ze: kubanga omwana alifa nga yaakamaze emyaka kikumi, n'alina ebibi nga yaakamaze emyaka kikumi alikolimirwa.