Isaiah 65:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tebalizimba mayumba ate ne gasulwamu balala, tebalisimba ate omulala n'alya; anti ng'emiti bwe giwangaala, n'abantu bange bwe banaawangaalanga, abalondemu bange balyeyagaliranga ebbanga ggwanvu mu bibala by'emikono gyabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tebalizimba nnyumba ate omulala agisulemu, tebalisimba ate omulala abirye. Kubanga emyaka gy’emiti nga bwe giba bwe gityo bwe giribeera emyaka gy’abantu bange. Abalonde bange balirwawo nga bawoomerwa emirimu gy’emikono gyabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tebalizimba omulala n'asulamu; tebalisimba omulala n'alya; kubanga ng'ennaku ez'omuti bwe ziba, bwe zityo bwe ziriba ennaku ez'abantu bange, n'abalonde bange balirwawo nga balya omulimu ogw'engalo zaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amayumba ge balizimba, tegalisulwamu balala, ne bye balisimba tebiririibwa balala. Ng'emiti bwe giwangaala emyaka emingi, n'abantu bange bwe baliwangaala. Abalondemu bange balirwawo nga balya ku bibala ebiva mu ntuuyo zaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tebalizimba omulala n'asulamu; tebalisimba omulala n'alya: kubanga ng'ennaku ez'omuti bwe ziba, bwe zityo bwe ziriba ennaku ez'abantu bange, n'abalonde bange balirwawo nga balya omulimu ogw'engalo zaabwe.