Isaiah 65:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tebaliteganira bwereere, era tebalizaala baana ba kulaba bikangabwa, kubanga baliba baana ba Mukama be yawa omukisa, bo wamu n'abaana baabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tebalikolera bwereere oba okuzaala abaana ab’okugwa mu katyabaga, kubanga balibeera abantu abaweebwa Mukama Katonda omukisa, bo awamu n’ab’enda yaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tebalikolera bwereere mirimu so tebalizaala ba kulaba nnaku; kubanga lye zzadde ly'abo abaweebwa Mukama omukisa, n'enda yaabwe wamu nabo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emirimu gye balikola, tegiribafa bwereere, n'abaana be balizaala, tebaliba ba kulaba nnaku, kubanga baliba zzadde ly'abo, Nze Mukama, be mpadde omukisa, bo bennyini, wamu n'ezzadde lyabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tebalikolera bwereere mirimu so tebalizaala ba kulaba nnaku; kubanga lye zzadde ly'abo abaweebwa Mukama omukisa, n’enda yaabwe wamu nabo.