Isaiah 65:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Banaabanga tebannayita, nze ne nnyanukula; banaabanga bakyayogera, nze nga nawulidde dda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nga tebanakoowoola ndibaddamu, nga bakyayogera bati mbaddemu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olulituuka nga tebannaba kuyita ndiyitaba; era nga bakyayogera ndiwulira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiseera ekyo bwe kirituuka, nnaabayitabanga nga tebannaba na kumpita; nnaabaanukulanga nga tebannaba na kumbuuza. Banaabanga bakyayogera, nga Nze nabawulidde dda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olulituuka nga tebannaba kuyita ndiyitaba; era nga bakyayogera ndiwulira.