Isaiah 65:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omusege n'akaliga biririira wamu; empologoma erirya essubi ng'ente; naye enfuufu y'eriba emmere y'omusota. Tebirikolera bubi oba okulumya ku lusozi lwange olutukuvu,” Omukama bw'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omusege n’omwana gw’endiga biriire wamu, era empologoma erye omuddo ng’ennume, era ettaka libeere emmere y’omusota. Tewaliba kulumya wadde kuzikiriza ku lusozi lwange olutukuvu,” bw’ayogera Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omusege n'omwana gw'endiga binaaliiranga wamu, n'empologoma eneeryanga omuddo ng'ente; n'enfuufu ye eneebanga emmere ey'omusota. Tebiriruma so tebirizikiririza ku lusozi lwange lwonna olutukuvu, bw'ayogera Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omusege n'endiga ento binaaliiranga wamu, n'empologoma eneeryanga muddo ng'ente; n'enfuufu, ye eneebanga emmere y'omusota. Ku Lusozi lwange lwonna Olutukuvu, tekuubenga kya kabi wadde ekizikiriza.” Mukama bw'atyo bw'agamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omusege n'omwana gw'endiga binaaliiranga wamu, n’empologoma eneeryanga omuddo ng'ente: n'enfuufu ye eneebanga emmere ey'omusota. Tebiriruma so tebirizikiririza ku lusozi lwange lwonna olutukuvu, bw'ayogera Mukama.