Isaiah 65:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
abatuula eyo mu malaalo, ne basula mu bifo ebyekusifu, abalya ennyama y'embizzi, ne mu nsaka zaabwe omuli omucuuzi gw'ennyama eyeenyinyalwa,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
abatuula mu malaalo ne bamalako ekiro kyonna mu bifo ebyekusifu, abalya ennyama y’embizzi, era n’amaseffuliya gaabwe gajjudde ennyama etali nnongoofu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
abatuula mu malaalo, abasula mu bifo eby'ekyama; abalya ennyama y'embizzi n'amazzi ag'emizizo gali mu bibya byabwe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiro bagenda mu limbo ne ku malaalo, ne basula mu bifo ebikisiddwa. Balya ennyama y'embizzi, ne bawuutira mu bibya byabwe omucuuzi gw'ennyama ey'omuzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
abatuula mu malaalo, abasula mu bifo eby'ekyama; abalya ennyama y'embizzi n'amazzi ag'emizizo gali mu bibya byabwe;