Isaiah 65:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
abagamba nti: ‘Dda eri, tonsemberera, sikulwa nga nkusiiga obutukuvu.’ Abantu abo mukka mu nnyindo zange, muliro ogwaka olunaku lwonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bagamba nti, ‘Beera wala, tojja kumpi nange, kubanga ndi mutuukirivu nnyo ggwe okunsaanira!’ Abantu bwe batyo mukka mu nnyindo zange, omuliro ogwaka olunaku lwonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
aboogera nti, “Yimirira wekka, tonsemberera nze kubanga nze nkusinga obutukuvu.” Abo gwe mukka mu nnyindo yange, omuliro ogwaka okuzibya obudde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bagamba bannaabwe nti: ‘Muyimirire eri wala temutusemberera. Ffe tuli batukuvu okusinga mmwe tetusaana kubeeriraanya!’ Abantu abali ng'abo siyinza kubagumiikiriza. Mbawanda lulusu era mbasibira obusungu obwokya ng'ettuntu!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
aboogera nti Yimirira wekka, tonsemberera nze kubanga nze nkusinga obutukuvu: abo gwe mukka mu nnyindo yange, omuliro ogwaka okuzibya obudde.