Isaiah 65:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama kino ky'agamba: “Ng'omubisi bwe gusangibwa nga gukyali mu kirimba ky'emizabbibu, abantu ne bagamba nti: ‘Togwonoona, gulimu omukisa,’ bwe ntyo bwe ndikola ku lw'abaweereza bange, siribazikiriza bonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’atyo bw’ayogera Mukama: “Ng’omubisi bwe gusangibwa mu kirimba ky’emizabbibu abantu ne bagamba nti, ‘Togwonoona, gukyalimu akalungi,’ bwe ntyo bwe ndikibakolera olw’obulungi bw’abaweereza bange. Sijja kubasaanyaawo bonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Ng'omwenge omusu bwe gulabikira mu kirimba, ne wabaawo ayogera nti,‘Togwonoona, kubanga gukyalimu akalungi,’ bwe ntyo bwe ndikola ku lw'abaddu bange nneme okubazikiriza bonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Nga mu mizabbibu bwe balondamu emirungi ne basogolamu omwenge, nga bagamba nti: ‘Temugizikiriza egyo kubanga girimu omugaso,’ bwe ntyo nange bwe ndikola ku lw'abaweereza bange, nneme kubazikiriza bonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Ng'omwenge omusu bwe gulabikira mu kirimba, ne wabaawo eyogera nti Tokizikiriza kubanga mulimu omukisa: bwe ntyo bwe ndikola ku lw'abaddu bange nneme okubazikiriza bonna.