Isaiah 65:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndisitusa ezzadde mu Yakobo, ne mu Yuda abo abalitwala ensozi zange; abantu bange be neeroboza be balizisikira; eyo abaweereza bange gye banaabeeranga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndiggya ezzadde okuva mu Yakobo era ne mu Yuda abo abalitwala ensozi zange; abantu bange abalonde balizigabana, era eyo abaweereza bange gye balibeera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndiggya ezzadde mu Yakobo ne mu Yuda ndiggyamu alisikira ensozi zange; n'abalonde bange baligisikira n'abaddu bange balituula omwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu bazzukulu ba Yakobo ne mu ba Yuda ndyerobozaamu abalifuna ensi eyo omuli ensozi zange. Abalondemu bange era abaweereza bange eriba yaabwe ku bwabwe, era babeerenga omwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndiggya ezzadde mu Yakobo ne mu Yuda ndiggyamu alisikira ensozi zange: n'abalonde bange baligisikira n'abaddu bange balituula omwo.