Isaiah 66:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama kino ky'agamba: “Eggulu ye nnamulondo yange, ate ensi ke katebe k'ebigere byange; nnyumba ki gye munanzimbira? Kifo ki mwe nnaawummulira?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda, “Eggulu y’entebe yange kwe nfugira n’ensi ke katebe kwe mpummuliza ebigere byange, nnyumba ki gye mulinzimbira? Kifo ki kye mulimpa okuwummuliramu?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “ Eggulu ye ntebe yange, n'ensi ye ntebe y'ebigere byange; nnyumba ki gye mulinzimbira? Era kifo ki ekiriba ekiwummulo kyange?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Eggulu ye ntebe yange ey'obwakabaka, n'ensi ke katebe kwe nteeka ebigere byange. Kale nnyumba ya ngeri ki gye mulinzimbira? Era kifo kya ngeri ki mwe ndiwummulira?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Eggulu ye ntebe yange, n'ensi ye ntebe y'ebigere byange: nnyumba ki gye mulinzimbira? era kifo ki ekiriba ekiwummulo kyange?