Isaiah 66:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti Omukama kino ky'agamba: “Nzija kukireetera eddembe eriri ng'omugga, n'ekitiibwa ky'amawanga ekiri ng'engezi ey'amaanyi; muliyonka ne musitulirwa mu mikono gye, mulibuusibwabuusibwa ku maviivi ge.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Laba mbaleetera obugagga obutaliiko kkomo, obugagga bw’amawanga bube gye muli ng’omugga ogwanjaala. Muliyonkako, musitulibwe mu mbiriizi era bababuusizebuusize ku mubiri gwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, ndibunya emirembe gy'ali ng'omugga, n'obugagga bw'amawanga ng'omugga ogwanjaala, nammwe muliyonkako; muliweekerwa ku mbiriizi, era mulibuusibwabuusibwa ku maviivi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga Mukama agamba nti: “Ndijjuza ebirungi mu Yerusaalemu bikulukute ng'omugga, n'obugagga bw'amawanga buliyiika mu kyo ng'omugga ogwanjaala. Olwo nammwe muliyisibwa ng'omwana omuwere ayonsebwa nnyina: muliwambaatirwa, ne mubuusibwabuusibwa ku maviivi ge.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, ndibunya emirembe gy'ali ng'omugga, n’ekitiibwa ky'amawanga ng'omugga ogwanjaala, nammwe muliyonkako; muliweekerwa ku mbiriizi, era mulibuusibwabuusibwa ku maviivi.