Isaiah 66:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe mulikiraba, emitima gyammwe girijaganya, amagumba gammwe galiyala ng'omuddo; omukono gw'Omukama gulimanyisibwa abaweereza be, naye abalabe alibalaga obusungu bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kino bw’olikiraba omutima gwo gulisanyuka, era kirikufuula w’amaanyi omulamu obulungi ng’omuddo ogukuze. Olwo kiryoke kimanyibwe nti omukono gwa Mukama Katonda guyamba abaweereza be, ate obusungu bwe ne bulagibwa abalabe be.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era mulikiraba n'omutima gwammwe gulijaguza n'amagumba gammwe galyera ng'omuddo omugonvu; n'omukono gwa Mukama gulimanyibwa eri abaddu be, era alisunguwalira abalabe be.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekyo mulikiraba ne musanyuka, ne kibazzaamu amaanyi n'obulamu. Olwo mulimanya nga Nze Mukama, nnyamba abo abampulira, era nsunguwalira abalabe bange.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era mulikiraba n'omutima gwammwe gulijaguza n'amagumba gammwe galyera ng'omuddo omugonvu: n'omukono gwa Mukama gulimanyibwa eri abaddu be, era alisunguwalira abalabe be.