Isaiah 66:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Laba, Omukama ajjira mu muliro, ekigaali kye kiri nga kibuyaga, alage obusungu bwe n'obukambwe, era akomeko n'ennimi z'omuliro,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kubanga laba Mukama Katonda alijjira mu muliro, era n’amagaali ge ag’embalaasi galiba ng’empewo ey’omuyaga. Alijja n’obusungu bwe n’ekiruyi era alibanenya n’ennimi ez’omuliro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga, laba, Mukama alijja n'omuliro, n'amagaali ge galiba ng'empewo ey'akazimu; okusasula obusungu bwe n'ekiruyi, n'okunenya kwe n'ennimi ez'omuliro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale mulabe: Mukama alijja n'omuliro, nga yeebagadde amagaali agali nga kibuyaga ng'ajja okulaga obusungu bwe obuliko n'ekiruyi, n'okubonereza ng'akozesa ennimi ez'omuliro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga, laba, Mukama alijja n'omuliro, n'amagaali ge galiba ng'empewo ey'akazimu; okusasula obusungu bwe n'ekiruyi, n'okunenya kwe n'ennimi ez'omuliro.