Isaiah 66:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kubanga Omukama aliwa ensala ye n'omuliro, aliramula abantu bonna n'ekitala, era bangi Omukama b'alisanjaga.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuliro n’ekitala Mukama Katonda by’alibonerezesa abantu bonna, n’abo abalisaanyizibwawo baliba bangi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Mukama aliwoza na muliro era na kitala kye eri bonna abalina omubiri, era Mukama baalitta baliba bangi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga Mukama abantu bonna alibabonereza na muliro era na kitala, era b'alitta, baliba bangi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Mukama aliwoza na muliro era na kitala kye eri bonna abalina omubiri: era Mukama b'alitta baliba bangi.