Isaiah 66:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Abo abeetukuza ne beewoomya balyoke bagende mu nnimiro, nga bagoberera oyo ali wakati, abalya ennyama y'embizzi, ebyenyinyalwa n'emmese, baliggwaawo lumu,” Omukama bw'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Abo abeetukuza balyoke balage mu nnimiro entukuvu okukola eby’emizizo, abatambulira mu nnyiriri nga bwe balya embizzi, omusonso n’emmere ey’omuzizo, bonna balizikirira wamu,” bw’ayogera Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abo abeetukuza ne beerongoosa okugenda mu nsuku, emabega w'omu ali wakati, nga balya ennyama y'embizzi n'eky'omuzizo ekyo n'omusonso; baliggweerawo wamu, bw'ayogera Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Abo abeetukuza ne beerongoosa, okugenda ku mikolo mu nnimiro nga basimbye ennyiriri, ne balya ennyama y'embizzi, n'emmese, n'ebirala ebyenyinyalwa, balisaanyizibwawo wamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abo abeetukuza ne beerongoosa okugenda mu nsuku, ennyuma w'omu ali wakati, nga balya ennyama embizzi n'eky'omuzizo ekyo n'omusonso; baliggweerawo wamu, bw'ayogera Mukama.