Isaiah 66:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Nze, olw'ebikolwa byabwe n'ebirowoozo byabwe, nzija kujja nkuŋŋaanye amawanga n'ennimi; balijja ne balaba ekitiibwa kyange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Olw’ebyo bye bakola ne bye balowooza, nnaatera okujja nkuŋŋaanye amawanga gonna n’ennimi zonna, era balijja balabe ekitiibwa kyange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga nze mmanyi emirimu gyabwe n'ebirowoozo byabwe; ebiro bijja lwe ndikuŋŋaanya amawanga gonna n'ennimi; kale balijja ne balaba ekitiibwa kyange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze bye bakola mbimanyi ne bye balowooza. Ekiseera kijja kutuuka lwe ndikuŋŋaanya ab'amawanga gonna n'aboogera ennimi eza buli ngeri. Kale bwe balijja, baliraba ekitiibwa kyange,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga nze mmanyi emirimu gyabwe n'ebirowoozo byabwe: ebiro bijja lwe ndikuŋŋaanya amawanga gonna n'ennimi; kale balijja ne balaba ekitiibwa kyange.