Isaiah 66:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bino byonna mukono gwange si gwe gwabikola, era bino byonna si byange?” Omukama bw'agamba. “Kyokka omuntu asikiriza amaaso gange y'ono: omwetoowaze ate eyeenenyezza mu mwoyo, ajugumira awali ekigambo kyange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebintu bino byonna emikono gyange si gye gyagikola, noolwekyo ebintu bino byonna byange?” bw’ayogera Mukama Katonda. “Ono ye muntu gwe ntunulako; oyo ow’eggonjebwa era omwetoowaze mu mwoyo, oyo akankanira ekigambo kyange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bino byonna omukono gwange gwe gwabikola, era ebyo byonna ne bibaawo bwe bityo, bw'ayogera Mukama. Naye omuntu alina omwoyo oguboneredde era ow'eggonjebwa era omwetoowaze era akankanira ekigambo kyange ye wuuyo gwe nditunuulira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebintu byonna okubaawo nga bwe biriwo, byonna Nze nabitonda. Naye omuntu gwe nzisaako omwoyo ye mwetoowaze era aboneredde, anzisaamu ekitiibwa era akola nga bwe ndagira.” Mukama bw'atyo bw'agamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bino byonna omukono gwange gwe gwabikola, era ebyo byonna ne bibaawo bwe bityo, bw'ayogera Mukama: naye omwavu era alina omwoyo oguboneredde era akankanira ekigambo kyange ye wuuyo gwe nditunuulira.