Isaiah 66:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era baliggya baganda bammwe bonna mu mawanga gonna ne babaleeta ku lusozi lwange olutukuvu, mu Yeruzaalemu eri Omukama, ku mbalaasi, mu bigaali, ku nnyinyo, ku nnyumbu ne ku ŋŋamiya,” Omukama bw'agamba, “nga Abayisirayeli bwe batwalira mu kibya ekiyonjo ebitone byabwe eby'obuwunga mu nnyumba y'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Balikomyawo baganda bammwe bonna okuva mu mawanga nga ekirabo gye ndi. Balibaleetera ku mbalaasi, ne mu magaali ge mbalaasi n’ebigaali ne ku nnyumbu n’eŋŋamira ku lusozi lwange olutukuvu nga Isirayiri bwe baleeta ebiweebwayo ebirongoofu mu nnyumba ya Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo balireeta baganda bammwe bonna nga babaggya mu mawanga gonna okuba ekiweebwayo eri Mukama, ku mbalaasi ne mu magaali ne ku nnyinyo ne ku nnyumbu ne ku nsolo ez'embiro, awali olusozi lwange olutukuvu Yerusaalemi, bw'ayogera Mukama, ng'abaana ba Isiraeri bwe baleeta ekyo kye bawaayo mu kintu ekirongoofu mu nnyumba ya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Balireeta baganda bammwe bonna nga babaggya mu mawanga gonna, okubantonera Nze Mukama, ku Lusozi lwayo Olutukuvu Yerusaalemu. Balibaleetera ku mbalaasi, ne mu magaali, ne ku nnyinyo, ne ku nnyumbu, ne ku nsolo ezidduka embiro, ng'Abayisirayeli bwe baleeta ebiweebwayo mu Ssinzizo, nga biri mu bintu ebirongoofu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)