Isaiah 66:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era abamu mu bo ndibafuula bakabona n'Abaleevi,” Omukama bw'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ndifuula abamu ku bo okubeera bakabona n’abaleevi,” bw’ayogera Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nditwala ne ku bo okuba ba Kabona n'Abaleevi, bw'ayogera Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abamu ku bo ndibafuula bakabona n'Abaleevi.” Mukama bw'atyo bw'agamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nditwala ne ku bo okuba bakabona n'Abaleevi, bw'ayogera Mukama.