Isaiah 66:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kubanga ng'eggulu eriggya n'ensi empya, bye ndikola, bwe birinywerera mu maaso gange,” Omukama bw'agamba, “n'ezzadde lyammwe awamu n'erinnya lyammwe bwe birisigalawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kubanga nga eggulu eppya n’ensi empya, bye ndikola bwe biribeerawo olw’amaanyi gange, bw’ayogera Mukama Katonda, bwe lityo ezzadde lyammwe n’erinnya lyammwe bwe birisigala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga eggulu eriggya n'ensi empya bye ndikola bwe birisigala mu maaso gange, bw'ayogera Mukama, bwe bityo bwe lirisigala ezzadde lyammwe n'erinnya lyammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ng'eggulu eppya n'ensi empya bye ndikola, bwe birisigalawo mu maaso gange, bwe lityo n'ezzadde lyammwe era n'erinnya lyammwe bwe lirisigalawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga eggulu eriggya n'ensi empya bye ndikola bwe birisigala mu maaso gange, bw'ayogera Mukama, bwe bityo bwe birisigala ezzadde lyammwe n'erinnya lyammwe.