Isaiah 66:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Okuva ku Kuboneka kw'Omwezi okumu okutuusa ku kulala, n'okuva ku Sabbaato emu okutuusa ku ndala, buli muntu alijja avunname mu maaso gange,” Omukama bw'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okuva ku mwezi okutuuka ku mwezi, n’okuva ku ssabbiiti okutuuka ku ssabbiiti, bonna abalina omubiri banajjanga okusinziza mu maaso gange,” bw’ayogera Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olulituuka, okuva ku mwezi okutuusa ku mwezi, n'okuva ku Ssabbiiti okutuusa ku Ssabbiiti, bonna abalina omubiri banajjanga okusinziza mu maaso gange, bw'ayogera Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli omwezi lwe guboneka, ne ku buli Sabbaato, abantu bonna banajjanga okusinza mu maaso gange.” Mukama bw'atyo bw'agamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olulituuka, okuva ku mwezi okutuusa ku mwezi, n'okuva ku ssabbiiti okutuusa ku ssabbiiti, bonna abalina omubiri banajjanga okusinziza mu maaso gange, bw'ayogera Mukama.