Isaiah 66:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Balifuluma ne batunula ku mirambo gy'abantu abanjeemeranga; envunyu yaabwe tegenda kufa, n'omuliro gwabwe tegulizikira, era baliba kyenyinyalwa eri abantu bonna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kale bwe baliba bafuluma, baliraba emirambo gy’abasajja abanneewaggulako; kubanga envunyu zaabwe tezirifa, so n’omuliro gwabwe tegulizikizibwa; era baliba kyennyinnyalwa eri abantu bonna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Kale balifuluma ne batunuulira emirambo gy'abasajja abansobezzaako: kubanga envunyu yaabwe terifa, so n'omuliro gwabwe tegulizikizibwa: era baliba kyenyinyalwa eri bonna abalina omubiri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bwe banaabanga bavaayo, banaalabanga emirambo egy'abantu abanjeemera. Envunyu ezibalya tezirifa, n'omuliro ogubookya tegulizikizibwa, era baliba kyenyinyalwa eri abantu bonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale balifuluma ne batunuulira emirambo gy'abasajja abansobezzaako: kubanga envunyu yaabwe terifa, so n'omuliro gwabwe tegulizikizibwa: era baliba kyenyinyalwa eri bonna abalina omubiri.