Isaiah 66:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Atambira ente ennume ali ng'oyo atta omuntu; atambira endiga, ng'oyo amenya ensingo y'embwa; aweereza ebitambiro, ng'oyo aweereza omusaayi gw'embizzi; n'anyookeza obubaani obw'ekijjukizo, ng'oyo asinza ebitaliimu. Bano beerondeddewo amakubo gaabwe, emyoyo gyabwe gisanyukira mu byenyinyalwa byabwe;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye asaddaaka ente aba ng’asse omuntu, oyo awaayo omwana gw’endiga n’aba ng’amenye ensingo y’embwa, n’oyo awaayo ekiweebwayo eky’empeke aba ng’awaddeyo omusaayi gw’embizzi, era oyo anyookeza obubaane bw’ekijjukizo aba ng’asinza ekifaananyi ekikole n’emikono. Abantu bakutte amakubo gaabwe, era emmeeme zaabwe zisanyukira eby’emizizo byabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Asala ente aliŋŋaanga atta omuntu; awaayo omwana gw'endiga aliŋŋaanga amenyako embwa ensingo; aleeta ekiweebwayo eky'empeke aliŋŋaanga awaddeyo omusaayi gw'embizzi; era n'oyo anyookeza obubane bw'ekijjukizo, ali ng'oyo asabira ekifaananyi omukisa; balonze amakubo gaabwe bo, n'emmeeme yaabwe esanyukira emizizo gyabwe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Abantu bye baagala, bye beekolera. Tebalina bye baggyamu njawulo! Oli bw'atambira ente, aba kimu n'oyo atambidde omuntu. Oyo awaayo ekitambiro eky'endiga ento, tabaako njawulo n'oyo amenya obulago bw'embwa. Oyo aleeta ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, aba kimu n'oyo aleeta omusaayi gw'embizzi. Oyo anyookeza obubaane, abeera kimu n'oyo asaba ekifaananyi kya lubaale omukisa. Kye baagala kye beekolera, era basanyukira ebyenyinyalwa bye bakola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Asala ente aliŋŋanga atta omuntu; awaayo omwana gw'endiga aliŋŋanga amenyako embwa obugalo; aleeta ekiweebwayo aliŋŋanga aleeta omusaayi gw'embizzi; ayoteza omugavu ng'oyo asabira ekifaananyi omukisa: weewaawo, balonze amakubo gaabwe bo, n'emmeeme yaabwe esanyukira emizizo gyabwe;