Isaiah 66:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nange nno ndibalonderawo kubajooga, ne mbaleetera bye basinga okutya, kubanga bwe nakoowoola, tewali yayanukula, bwe nayogera, tewali yawuliriza; wabula baakola bibi mu maaso gange, ne balondawo ebitansanyusa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nange ndisalawo mbatuuseeko ekibambulira, mbaleeteko kye batandyagadde kibatuukeko. Kubanga bwe nayita, teri n’omu yayanukula, bwe nnaayogera tebanfaako. Bakola ebibi mu maaso gange ne bagoberera ebitansanyusa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nange ndisalawo mbatuseeko ekibambulira, ne mbaleetako ebyo bye batya; kubanga bwe nnayita, teri n'omu eyayitaba; bwe nnayogera tebaawulira; naye ne bakola ekyali ekibi mu maaso gange, ne balonda ekyo kye ssaasanyukira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale nange ndibatuusaako ebyo byennyini ebibakosa era bye batya, kubanga bwe nakoowoola, tewaali n'omu yayitaba. Bwe nayogera, tewaali yafaayo kuwulira, naye ne bakola bye mbagaana, ne balondawo ebitansanyusa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era nange ndironda ebibalimbalimba, ne mbaleetako ebyo bye batya; kubanga bwe nnayita ne wataba muntu eyayitaba; bwe nnayogera tebaawulira: naye ne bakola ekyali ekibi mu maaso gange, ne balonda ekyo kye ssaasanyukira.