Isaiah 66:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muwulire ekigambo ky'Omukama mmwe abajugumira awali ekigambo kye: “Baganda bammwe ababakyaye, ababasosola olw'okubeera erinnya lyange, bagambye nti: ‘Ka Omukama agulumizibwe, tulabe bwe musanyuka.’ Naye bajja kuswaluka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Muwulirize ekigambo kya Mukama Katonda mmwe abakankanira ekigambo kye. “Baganda bammwe abatabaagala era ababayigganya olw’erinnya lyange babasekerera nti, ‘Leka Mukama alage obukulu bwe abalokole tulabe bwe musanyuka!’ Naye bo be banaakwasibwa ensonyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abakankanira ekigambo kye; Baganda bammwe abaabakyawa, abaabagoba okubalanga erinnya lyange, boogedde nti, Leka Mukama aweebwe ekitiibwa tulyoke tulabe essanyu lyammwe; naye balikwatibwa ensonyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muwulire Mukama ky'agamba mmwe abassaayo omwoyo okukola by'alagira: “Bannammwe ababakyawa era ababagobaganya mmwe olw'okuba abeesigwa gye ndi, babakudaalira nga bagamba nti: ‘Mukama abataase mmwe, alage bw'ali omukulu, tulyoke tulabe bwe musanyuka.’ Naye bo bennyini be baliswala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abakankanira ekigambo kye: nti Baganda bammwe abaabakyawa, abaabagoba okubalanga erinnya lyange, boogedde nti Mukama aweebwe ekitiibwa tulyoke tulabe essanyu lyammwe; naye balikwatibwa ensonyi.