Isaiah 66:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Muwulire, oluyoogaano okuva mu kibuga. Eddoboozi okuva mu Kiggwa. Lye ddoboozi ly'Omukama ng'aweera abalabe be ekibagwanidde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Muwulirize. Oluyoogaano oluva mu kibuga, muwulirize eddoboozi eriva mu yeekaalu. Eddoboozi eryo lya Mukama Katonda ng’asasula abalabe be nga bwe kibagwanira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eddoboozi ery'okuyoogaana eriva mu kibuga, eddoboozi eriva mu Yeekaalu, eddoboozi lya Mukama asasula abalabe be empeera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muwulire okuyoogaana okuva eri mu kibuga, eddoboozi eriva mu Ssinzizo, eddoboozi lya Mukama ng'abonereza abamukyawa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eddoboozi ery'okuyoogaana eriva mu kibuga, eddoboozi eriva mu yeekaalu, eddoboozi lya Mukama asasula abalabe be empeera.