Isaiah 66:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ani yali awulidde ekiri ng'ekyo? Ani yali alabye ekiri ng'ekyo? Ensi eyinza okuzaalibwa mu lunaku olumu, oba eggwanga okuzaalibwa mu kaseera obuseera? Kubanga Siyoni olwali okulumwa, n'azaala abaana be.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ani eyali awulidde ekintu bwe kityo? Ani eyali alabye ekiri ng’ekyo? Ensi eyinza okuzaalibwa mu lunaku lumu oba eggwanga okutondebwawo mu kaseera obuseera? Akaseera katono bwe kati, Sayuuni anaaba yakalumwa ng’eggwanga litondebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ani eyali awulidde ekigambo ekifaanana bwe kityo? Ani eyali alabye ebigambo ebifaanana bwe bityo? Ensi erizaalwa ku lunaku lumu? eggwanga liriva mu lubuto mulundi gumu? Kubanga Sayuuni yali nga kyajje alumwe n'azaala abaana be.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ani yali akiwuliddeko ekyo? Ani yali alabye ekiri ng'ekyo? Eggwanga litandikawo mu lunaku lumu, ne lizaalibwa omulundi gumu? Ye Siyooni yali kyajje alumwe, n'azaala abaana be.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ani eyali awulidde ekigambo ekifaanana bwe kityo? ani eyali alabye ebigambo ebifaanana bwe bityo? Ensi erizaalwa ku lunaku lumu? eggwanga liriva mu lubuto mulundi gumu? kubanga Sayuuni yali nga kyajje alumwe n'azaala abaana be.