Isaiah 66:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ntuusa omuntu ku kuzaala ate ne simuwa kuwona?” Omukama bw'agamba. “Oba nze awa okuzaala ate nzigalira olubuto?” Katonda wammwe bw'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nnyinza okutuusa abantu bange ku kuzaalibwa ne batazaalibwa?” bw’ayogera Mukama Katonda. “Ate olubuto ndusiba ntya nga ndutuusizza ku kuzaala?” bw’ayogera Mukama Katonda wo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ndituusa okuzaalisa abantu bange ne ssizaaza? Bw'ayogera Mukama; nze azaaza ndiggala olubuto? Bw'ayogera Katonda wo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndituusa abantu bange mu kaseera ak'okuzaalibwa, ne sibaleka kuzaalibwa ne mbalekayo mu nda?” Mukama Katonda wammwe bw'atyo bw'agamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ndituusa okuzaalwa ne ssizaaza? bw'ayogera Mukama: nze azaaza ndiggala olubuto? bw'ayogera Katonda wo.