Isaiah 7:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mirembe gya kabaka Akazi, mutabani wa Yotamu, mutabani wa Wuzziya kabaka wa Yuda, Rezini kabaka wa Aramu ne Peka mutabani wa Remaliya, kabaka wa Yisirayeli, ne bambuka okuzinda Yeruzaalemu, naye tebaasobola kukiwangula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo olwatuuka mu mirembe gya Akazi omwana wa Yosamu, omwana wa Uzziya, kabaka wa Yuda, Lezini kabaka w’e Busuuli, ne Peka omwana wa Lemaliya, kabaka wa Isirayiri ne bambuka okulwanyisa Yerusaalemi naye ne balemererwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka, Akazi mutabani wa Yosamu, muzzukulu wa Uzziya, bwe yali nga ye kabaka mu Yuda, Lezini kabaka w'e Busuli, ne Peka mutabani wa Lemaliya, nga ye kabaka mu Isiraeri, ne balumba Yerusaalemi okukirwanyisa, naye ne kibalema okuwangula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo olwatuuka, Ahazi mutabani wa Yotamu era muzzukulu wa Wuzziya, bwe yali nga ye afuga Buyudaaya, Rezini kabaka wa Siriya, ne Peka mutabani wa Remaaliya era kabaka wa Yisirayeli, ne balumba Yerusaalemu, naye ne kibalema okuwangula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka ku mirembe gya Akazi omwana wa Yosamu, omwana wa Uzziya, kabaka wa Yuda, Lezini kabaka w'e Busuuli, ne Peka omwana wa Lemaliya, kabaka wa Isiraeri, ne bayambuka e Yerusaalemi okukirwanyisa; naye ne bakiremwa.