Isaiah 7:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Weesabire eri Omukama Katonda wo akabonero, oba kuva wansi ekkuzimu, oba waggulu mu ggulu eyo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Saba Mukama Katonda wo akabonero, ne bwe kanaaba mu buziba, oba mu magombe oba mu bwengula.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Saba Mukama Katonda wo akabonero, ne bwe kanaaba mu buziba oba mu bbanga waggulu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Saba Mukama Katonda wo akuwe akabonero, kave oba ewala ekuzimu, oba waggulu mu bbanga.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Weesabire Mukama Katonda wo akabonero: kasabe oba mu buziba oba mu bbanga waggulu.