Isaiah 7:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Yisaaya n'agamba nti: “Kale nno wulira, ggwe Ennyumba ya Dawudi; tekikumalira kukooya bantu, kyova okooya ne Katonda wange?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Isaaya n’ayogera nti, “Muwulire mmwe kaakano, mmwe ennyumba ya Dawudi! Okugezesa abantu tekibamala? Ne Katonda munaamugezesa?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Isaaya n'ayogera nti, Muwulire kaakano, mmwe ennyumba ya Dawudi; kigambo kitono gye muli mmwe okukooya abantu era n'okwagala ne mwagala okukooya ne Katonda wange?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yisaaya n'amuddamu nti: “Muwulire mmwe, ab'ennyumba ya Dawudi. Tekibamala okukooya abantu ababagumiikiriza mmwe, ne mwagala n'okukooya era ne Katonda wange?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Muwulire kaakano, mmwe ennyumba ya Dawudi; kigambo kitono gye muli mmwe okukooya abantu n'okwagala ne mwagala okukooya ne Katonda wange era?