Isaiah 7:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'ekyo nno Omukama yennyini y'alibawa akabonero: Laba, omuwala embeerera anaaba olubuto n'azaala omwana wa bulenzi; alimutuuma Yimmanweli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo Mukama yennyini kyaliva abawa akabonero; laba omuwala atamanyi musajja alizaala omwana wabulenzi era alituumibwa erinnya Emmanweri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama yennyini kyaliva abawa akabonero; laba, omuwala atamanyi musajja aliba olubuto, alizaala omwana wa bulenzi, era alituumwa erinnya lye Imanueri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale Mukama ye ku bubwe alibawa akabonero: omuwala embeerera aliba olubuto, n'azaala omwana wa bulenzi, era n'amutuuma erinnya Emmanweli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama yennyini kyaliva abawa akabonero; laba, omuwala atamanyi musajja aliba olubuto, alizaala omwana wa bulenzi era alituumwa erinnya lye Imanueri.