Isaiah 7:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aliryanga muzigo na mubisi gwa njuki bw'aliba afunye amagezi ag'okwesammula ekibi n'okulondawo ekirungi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’alituuka okwawula ekirungi n’ekibi aliba alya muzigo na mubisi gwa njuki.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
W'alituukira okwawula ekirungi n'ekibi aliba alya muzigo n'omubisi gw'enjuki.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
W'alituukira okwawula ekirungi n'ekibi, amata n'omubisi gw'enjuki, ye eriba emmere y'abantu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuzigo n'omubisi gw'enjuki alibirya, bw'amanya okugaana ebibi, n'okweroboza ebirungi.