Isaiah 7:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye omwana aliba tannamanya kwesammula kibi na kulondawo kirungi, ensi omuli bakabaka ababiri abakutiisa eriba efuuse matongo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga ng’omwana bw’aba nga tannamanya kugaana kibi n’alondawo ekirungi, ensi eza bakabaka ababiri bootya erisigala matongo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ekyo bwe kiriba tekinatuukirira, ensi ezo z'okyawamu bakabaka baazo ziriba zaabuliddwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
era olwo ensi z'okyawamu bakabaka baamu bombi, ziriba zaabuliddwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga omwana nga tannamanya kugaana bibi n'okweroboza ebirungi, ensi gy'okyawaamu bakabaka baayo bombi erirekebwa.