Isaiah 7:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda alikuleetera, ggwe n'abantu bo n'amaka ga kitaawo, ekiseera ekitabangawo kasookedde Efurayimu ayawukana ku Yuda, kabaka wa Assuri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda alikuleetako ne ku bantu bo ne ku nnyumba ya kitaawo ennaku ezitabangawo bukyanga Efulayimu eva ku Yuda; agenda kuleeta kabaka w’e Bwasuli.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama alikuleetako ne ku bantu bo, ne ku nnyumba ya kitaawo, ennaku ezitabangawo bukyanga Efulayimu eva ku Yuda. Ajja kubaleetera kabaka w'e Bwasuli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku ggwe, ne ku bantu bo, ne ku b'ennyumba ya kitaawo, Mukama alireeta ennaku ez'ebizibu ebisinga ku byali bizze, okuva obwakabaka bwa Yisirayeli bweyawula ku bwa Buyudaaya. Ajja kubaleetera kabaka wa Assiriya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama alikuleetako ne ku bantu bo, ne ku nnyumba ya kitaawo, ennaku ezitajjanga, okuva ku lunaku Efulayimu lwe yaviiramu mu Yuda; kabaka w'e Bwasuli.