Isaiah 7:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zirijja ne zikkalira mu nkonko empanvu ne mu mpampagama z'enjazi, ne mu bisaka by'amaggwa na ku buli awasenebwa amazzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era byonna birijja bituule mu biwonvu ebyazika, ne mu njatika z’omu mayinja, ku maggwa, ne ku malundiro gonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Balijja bonna ne beeyiwa mu biwonvu ebyazika, ne mu mpuku ez'omu njazi, ne mu bisaka byonna eby'amaggwa, ne mu malundiro gonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Balijja ne beeyiwa bonna mu biwonvu ebyazika, ne mu mpuku ez'omu njazi, ne mu bisaka byonna eby'amaggwa, ne mu malundiro gonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era birijja, era biriwummulira byonna mu biwonvu ebyazika, ne mu bunnya obw'omu mayinja, ne ku maggwa gonna, ne ku malundiro gonna.