Isaiah 7:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne babuulira Ennyumba ya Dawudi nti: “Aramu yeekobaanye ne Efurayimu.” Omutima gwe n'egy'abantu be ne gitengera ng'emiti gy'ekibira bwe giba nga giyuguumiziddwa kibuyaga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amawulire bwe gatuuka eri Kabaka wa Yuda nti, “Obusuuli bwegasse ne Efulayimu okubalumba”; omutima gwe n’egy’abantu ba Yuda bonna ne gikankana, ne giba ng’emiti egy’omu kibira eginyeenyezebwa embuyaga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe baabulira ennyumba ya Dawudi nti Obusuuli bwekobaanye ne Efulayimu, omutima gwa kabaka n'ogw'abantu be ne gunyeenyezebwa, ng'emiti egy'omu kibira bwe ginyeenyezebwa embuyaga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'ennyumba ya Dawudi bwe baawulira nga Siriya yeekobaanye n'Abeefurayimu, kabaka n'abantu be emitima ne gibeewuuba ng'emiti egy'omu kibira bwe ginyeenyezebwa embuyaga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne babuulira ennyumba ya Dawudi nga boogera nti Obusuuli butabaganye ne Efulayimu. Omutima gwe ne gunyeenyezebwa, n'omutima gw'abantu be, ng'emiti egy'omu kibira bwe ginyeenyezebwa n'empewo.