Isaiah 7:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ku olwo Omukama aliddira akamwano akeeyazikiddwa emitala w'Omugga, ne kabaka wa Assuri, n'amwa emitwe gyammwe, n'amwa n'obwoya obw'oku magulu, n'abaggyako n'ekirevu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku luli Mukama alimwesa akawembe akapangisiddwa emitala w’emigga, ye kabaka w’e Bwasuli, kammwe omutwe, n’obwoya bw’oku magulu, kasalireko ddala n’ekirevu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku olwo Mukama alimwesa akamwano akapangise ak'emitala w'emigga, ye Kabaka w'e Bwasuli, alibamwako enviiri ku mutwe, n'obwoya bw'okumagulu, alibasalirako ddala n'ebirevu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ekiseera ekyo bwe kirituuka, Mukama alimwesa akamwano k'aligula mu bifo eby'emitala w'Omugga Ewufuraate, ako ye Kabaka wa Assiriya, n'alyoka abamwako enviiri ku mutwe, n'ebirevu, n'obwoya obw'oku mibiri gyammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku lunaku luli Mukama alimwesa akamwano akagule akali mu bifo eby'emitala w'omugga, ye Kabaka w'e Bwasuli, omutwe n'obwoya obw'oku bigere: era kalimalawo n'ekirevu.