Isaiah 7:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
olw'obungi bw'amata amangi ge zinaawanga, ajjanga kulya muzigo; na buli muntu aliba asigadde mu nsi anaalyanga muzigo na mubisi gwa njuki.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
naye olw’obungi bw’amata agabivaamu, alirya ku muzigo. Kubanga buli alisigalawo mu nsi alirya muzigo na mubisi gwa njuki.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
amata amangi ge zirigabiza galisundwamu omuzigo: kubanga buli muntu aliba asigadde mu nsi eyo, anaalyanga omuzigo n'omubisi gw'enjuki.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
amata ge zirigabiza galimumala, n'agasundamu n'omuzigo. Ddala buli aliba asigadde mu nsi eyo, anaalyanga omuzigo, n'omubisi gw'enjuki.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olulituuka olw'amata amangi ge zirigabiza anaalyanga omuzigo: kubanga buli muntu an'alyanga omuzigo n'omubisi gw'enjuki aliba asigadde wakati mu nsi.